Amawulire

Abakadde bagala gavumenti ebakendereze ku myaka

Abakadde bagala gavumenti ebakendereze ku myaka

Ivan Ssenabulya

December 2nd, 2019

No comments

Bya Barbara Nalweyiso, Abakadde mu district e Kassanda basabye gavumenti ebakenderezeeko ku myaka egyasibwawo okufunirako ensimbi ez’obukadde mu nkola eya SAGE, kubanga bangi tebannajiweza naye embeera yaabwe mbi ddala betaaga buyambi.

Abakadde mu district eno bagamba nti bangi batubidde na abaana,era nga abamu kubakadde abagamba nti kyandibade kirungi gov’t newanga abakadde bano ebintu ebikalu nga amabaatu ne cement mukiffo kyokufuna 25000 zebagamba nti ntono nyooo ate nga zibawebwa buli luvanyuma lwa myeezi esatu.

Ssentebe wa district ye Kassanda Hajj Ziad Kalema agambye nti abakadde be Kassanda enteekateeka eno yatongozeddwa mu butongore okuva ku Mubende, era basuubira obumulumulu obubaddewo bugenda kuggwawo.