Amawulire

Abagoba ba Bodaboda basabiddwa okwewala obuvuyo
Bya Ivan Ssenabulya,
Omukwanaganya wa poliisi nómuntu wa bulijjo Anatolie Muretera akubiriza bagoba ba bodaboda okukwatagana ne poliisi obulungi baleme kufuna kusumbuyibwa nga bakola egyabwe.
Bino yabyogeredde ku mukolo bannalotale e Mukono bwebabadde bagabira abagoba ba bodaboda bu-jaketi Anatolie ne bintu ebirala ebiyinza okubayamba okubakuuma nga bakola egyabwe
Muleterwa era yasabye ababodaboda okwewala embeera eya kavuyo na ddala mu biseera nbino nge ggwanga liri ku bunkenke
Ye akulira lotale club e Mukono Angela Nansamba yategezeza nga bwebafuba okulaba nti ababoda bakola emirimu gyabwe mu bukuumi nga tebafunye bubenje.