Amawulire

Abagambibwa okutega bbomu Tebeyimiriddwa

Ali Mivule

July 15th, 2013

No comments

 

Abateberezebwa okutega bomu ezatta abantu e kyaddondo ne Kansanga bandigira nga bawangaalira mu kkomera ga kino kidiridde kooti  okugaana okubakkiriza okweyimirirwa.

 

Bano okuli Edris Magondu ne Hussein Agadenga bonna banansi ba Kenya baakedde kugenda mu kkooti okuwaayo okusaba kwaabwe wabula omulamuzi Ezekiel Muhanguzi n’agaana okukola ku nsonga zaabwe.

 

Omulamuzi agambye ntii bano beebamu baali bagenda mu kooti ya semateeka nga bawakanya okuwozesebwa kaabwe kale nga gyebalina okulinda.