Amawulire

Abafumbo babakutte lwabubbi

Abafumbo babakutte lwabubbi

Ivan Ssenabulya

October 9th, 2019

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Ab’obuyinza mu divison ye Wakisi mu munispaali ye Njeru mu district ye Buikwe baliko abafumbo bebakutte, ku misango gyobubbi.

Abakwate batuuze mu Kiira zone nga kigambibwa nti babaddenga bamenya amayumba gabatuuze.

Ssentebbe wa LC 1 Hassan Waguma Baseke agambye nti kino kyadiridde abatuuze okusanga omukyala ngayambadde engoye, enzibe.

Kati agambye nti bakebedde ennyumba era nebazulamu ebintu ebigambibwa okubeera ebibbe.

Muno mubaddemu TV, amasuuka, emifaliso nebirala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *