Amawulire

Abafumbo abasudde ebujje bawenjezebwa

Abafumbo abasudde ebujje bawenjezebwa

Ivan Ssenabulya

May 4th, 2021

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Poliisi mu disitulikiti yé Namutumba etandise okunonya abagalana abagambibwa okusuula ebujje eryemwezi 6 ku kasasiro.

Bano batuuze ku kyalo Matyama mu tawuni kanso ye Namutumba, abatuuze bagamba nti abafumbo balabiddwako nga basuula omwana kukasasiro ne bamalamu omusubi.

Ssentbe wekyalo kino Yasin Lwanga atubuulidde nti abafumbo bano babadde nobutakanya kundabiririra yomwana ono kwekusalawo okumusuula buli omu obuvunanyizibwa bumuveeko, ne basenguka mu kazigo mwe bababadde basula.

Omwana agiddwawo poliisi nga mulamu kati omuyigo ku bakamuzaala gutandise.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *