Amawulire

Abafiiridde mu Nyonyi baddiziddwa ku butaka

Abafiiridde mu Nyonyi baddiziddwa ku butaka

Ali Mivule

November 2nd, 2015

No comments

File Photo:Ebisigalira bya bafiridde mu nyonyi mu gwanga lya Russia

File Photo:Ebisigalira bya bafiridde mu nyonyi mu gwanga lya Russia

Emirambo gy’abantu abasoba mu  140 abafiiridde mu kabenje k’enyonyi mu kitundu kya Sinai mu ggwanga lya Misiri gitwaliddwa ku butaka mu kibuga St Petersburg mu ggwanga lya Russia.

Abantu bonna  224 abaabadde ku nyonyi eno nga okusinga bananasi b’eggwanga lya Russia bafudde oluvanyuma  lw’enyonyi eno okugwa mu kitundu kya Sinai.

Eggwanga lino lyalangiridde olunaku lwkukungubaka olunaku lw’eggulo olw’akabenje k’enyonyi akakyasinze okubeera akomutawaana mu ggwanga lino.