Amawulire

Abafiira e Namungoona bamanyise-ebivudde mu musaayi bifulumye

Ali Mivule

July 8th, 2013

No comments

results out

Ebyavudde mu kukebera omusaayi n’obunyama bw’emirambo egyasiririra mu muliro, bifulumiziddwa.

Guno gwe muliro ogwakwata ekimotoka ky’amafuta e Namungoona ku Northern Bypass ne gwokya abantu abagendayo okusena amafuta n’abaali ku ngendo zaabwe.

Ab’eddwaliro ly’e Mulago baasalawo okukebera omusaayi gw’abali banonye emirambo egyali gitategeerekeka, okuzuula banyini gyo.

Oluvanyuma lw’ebivudde mu kukeberwa , emirambo 6 giweereddwa banyini gyo bagitwaale.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *