Amawulire

Abadde yeyita omusawo bamukutte

Abadde yeyita omusawo bamukutte

Ivan Ssenabulya

September 4th, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Abadde yeeyita dokita n’aguza abalwadde eddagala effu bamukutte.

Nelson Isiko owemyaka 40, kigambibwa nti abadde yakola akalwaliro ak’ekimpatiira mu katawuni k’e Nkokonjeru mu ggombolola y’e Kitimbwa mu disitulikiti y’e Kayunga mw’abbira abantu nga yeeyita dokita.

Akulira eby’obulamu mu disitulikiti y’e Kayunga Patrick Osironi agambye nti Isiko awudiisa abalwadde nebatagenda mu malwaliro ga gavumenti, ngabalimbira awo.

Isiko aggaliddwa mu kaduukulu ka poliisi e Kayunga, nga talina nampapula ez’obuyigirize ne layisinsi emukkiriza okukola obusawo.

Isiko mu kwerwanako ategeezezza nti alina esuubi okuddayo okusoma.

Akulira ba mbega ba poliisi e Kayunga Isaac Mugera agambye Isiko baamugguddeko emisango omuli ogw’okweyita kyatali nokufuna ssente mu lukujjukujju.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *