Amawulire

Abadde ayola banne ebiger bamusse

Abadde ayola banne ebiger bamusse

Ivan Ssenabulya

September 3rd, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi ekubye amasasi mu bbanga okugumbulula abatuuze ababadde bagala okugajamabula, agambibwa okubeera omulogo ku kyalo Kigunga mu Munisipali ye Mukono.

Poliisi ye Seeta ng’ekulembeddwa omukwanaganya wa poliisi
n’omuntu wabulijjo Yunusu Mukasa esobodde okutaasa Alex Nsubuga, abatuuze gwebabadde bekokola okubaloga, nga kigambibwa nti abaddenga abayoola bigere.

Abatuuze babadde bamukumyeko omuliro, wabula poliisi yetasizza bwetukidde mu budde.

Bano okuva mu mbeera kyadiridde Nsubuga okuyooola
ebigere bya Robert Kibuuka omusazi w’enviri ne Muhamudu Kyagulanyi omutemi w’enyama, abakolera mu kitundu ekyo.

Afande Mukasa agambye nti bagenda kwongera okunonyereza.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *