Amawulire

Abadde atudna eddagala effu ayiggibwa

Abadde atudna eddagala effu ayiggibwa

Ivan Ssenabulya

July 1st, 2019

No comments

Bya Abubaker Kirunda, Poliisi e Iganga eriko omusajja wa myaka 42 gweyigga, agambibwa nti abaddenga atunda eddagala eryayitako.

Twah Kigozi omutuuze ku kyalo Nawansinge mu gombolola ye Bulamagi kigambibwa nti abaddenga, addira eddagala eryayitako nalarijjako obupapula, n’asaako obulala obulaga nti ddamu songa ffu.

Omudumizi w apoliisi e Iganga David Ndawula agambye nti bazinzeeko, amaka ge era nebazuula nti kino abaddenga akikola.

Omusajja ono yadduse wabul;anga poliisi egamba nti yakutte abantu 2 okuli Muzamil Muhwana ne Willy Mwesigwa bebagenda okuyambako mu kunonyereza.

Kuno kubaddeko eddagala lyomusujja, Panado ne ddala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *