Amawulire

Abadde abbye omwana bamukutte

Abadde abbye omwana bamukutte

Ivan Ssenabulya

September 20th, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Poliisi e Kawempe eriko omukazi gwekutte agambibwa nti yabadde abbye omwana omuwere ow’omwezi ogumu n’ekitundu.

Omukwate ye Sharifah Mumbejja owemyaka 19 nga mutuuze w’e Nabweru mu Kafunda.

Omwana gweyabadde abbey wa Prossy Namukwaya ne Paul Bruno abatuuze b’e Bwaise mu St. Francis zooni.

Namukwaya kigambibwa nti yasoose kwefuula mukwano gwa maama w’omwana we.

Wabula mu kwewozaako Mumbejja agambye omwana abadde tamubbye, naye abadde agenze kusisinkana muganzi amale amukomyewo, naye essimu ye neggwako omuliro.

Agambye nti tabadde na kigendererwa kyonna kikyamu, kubanga naye ali lubuto nga kyekimwagaza ennyo abaana.

Kati ssentebe w’ekitundu Abdul Latif Ssekirime awadde abakyala amagezi okwongera okunyweza obukuumi eri abaana baabwe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *