Amawulire

Abadde Abba ku Radio Bamukubye Amasasi

Ivan Ssenabulya

June 18th, 2017

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi e Mukono etandise okunonyereza ku ngeri omusajja atannaba kutegeerekeka gyeyakubiddwamu amasasi nafiirawo ku kyalo Wanjeyo e Walusubi mu gombolola ye Nama mu Mukono District.

Kigambibwa ono yabadde aliko byabba mu kiro ku Radio emu, esangibwa mu kitundu kino.

Ono omukuumi yamukutte nabaako wamuggalira wabula nagezaako okudduka, kwekumukuba amasasi agamutiddewo.

Atwala okunonyereza ku buzzi bwemisango ku Poliisi ye Mukono Ibrahim Batasi ategezezza nga bwebakutte omukuumi Ariko Morris ayambeko mu kunonyererza.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *