Amawulire

Ababulwako be’Kyotera bafunye essuubi

Ababulwako be’Kyotera bafunye essuubi

Ivan Ssenabulya

March 9th, 2021

No comments

Bya Gertrude Mutyaba,

Abantu abaabuzibwako ab’enganda zabwe e Kyotera ku kyalo Kisamula mu town council ya Kyotera mu district ye Kyotera bafunye essuubi oluvannyuma lw’okufuna puliida agenda okubakulemberamu okugenda mu kooti okubanja abantu babwe abaabuzibwawo abagambibwa
okubeera ab’ebyokwerinda.

Kinajjukirwa nti abantu abawerera ddala 18 beebaabuzibwawo mu district ye Kyotera nga 8 omwezi ogwa January omwaka guno.

Alexander Lule okuva mu Xander Company advocates yeyesowoddeyo okulaba
ng’alwanirira abantu asoose ku poliisi e Kyotera okubuuza abasirikale oba bamanyi amayitire g’abantu abaabuzibwayo kyokka ono bamutegeezezza nga bwebatamanyi

Abamu ku bantu abaabulwako ababwe bayungudde amaziga nga balaga obutali bumativu ku ngeri ekibiina ki NUP bwekitabayambye ate nga
abantu babwe baabuzibwawo ku lwabwe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *