Amawulire

Ababbi bakuliise n’obukadde 22 ku ssundiro ly’amafuta

Ababbi bakuliise n’obukadde 22 ku ssundiro ly’amafuta

Ivan Ssenabulya

September 6th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi mu district ye Mbarara etandise okunonyereza ku bubbi obukoleddwa ku ssundiro ly’amafuta.

Okusinziira ku nannyini ssundiro lino erya RURO Petroleum petrol station erisangibwa mu kabuga ke Ruti, nga ye Tumwebaze Anthony abazigu 6 ababadde bebagalidde amajambiya ne nnyondo, babbye obukadde 22 nekitundu.

Kigambibw anti basoose kusiba abakozi 2 emiguwa, nebabakuba emitagambibw anebatwala nebintu ebiralala ebikalu okubadde amasasi.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kye Rwizi Samson Kasasira has akakasizza, bino nagamba nti okukonyereza kutandise.

Bbo abakozi abalumiziddwa kati bali mu ddwaliro ekkulu e Mbarara bafuna bujanjabi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *