Amawulire

Ababaka sibasanyufu ku mirimu egitakolebwa nga ate ensimbi zifuluma

Ababaka sibasanyufu ku mirimu egitakolebwa nga ate ensimbi zifuluma

Ivan Ssenabulya

May 8th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Akakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku byembalirira kalaze obwenyamivu ku nsimbi ezifulumizibwa ne zitakola ne zitekebwa mu nsawo enzibizi kyokka nga emirimu gye zalina okukola tegyagwa.

Mu mwaka gwe byensimbi 2020/21 obuwumbi bwénsimbi 951 billion obwali obwakukola ku pulogulaamu za gavt 15 zasigala tezikoledwako wetwamalirako omwezi gwa Ntevu 2020.

Okusinzira ku ssentebe wa kakiiko kano, Amos Lugoloobi, agamba yadde nga ekirwadde kya covid-19 kyatataganyamu emirimu, naye nobugayaavu tebubuzeewo.

Ebitongole okuli ekye byenguudo ekya Uganda National Roads Authority (UNRA), Uganda Police Force nakakiiko ké byókulonda bye basinga okuba ne mirimu egitakoleddwa songa sente zaaliwo.