Amawulire

Ababaka bawunikiridde ku bikwata ku ddwaliro lya Gavt e Mbale

Ababaka bawunikiridde ku bikwata ku ddwaliro lya Gavt e Mbale

Ivan Ssenabulya

July 14th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akatekebwawo okwekenenya engeri gavumenti gyekutemu ensonga zókulwanyisa ekirwadde kya covid-19, kibabuuseeko bwebazudde nti eddwaliro lya gavt erya Mbale Regional Referral Hospital lirina ambulance 4 zokka mu kifo kyomunana ezabaweebwa minisitule eye byobulamu.

Bino bizuuliddwa mu kulambula kwe baliko mu bitundu bye ggwanga ebyenjawulo, akulira eddwaliro lino Dr. Emmanuel Tugaineyo yewunyisiza ababaka bwategezeza nti ne ambulance 4 zebalina tebalina nsimbi kuzisobozesa okukola emirimu nókuzidabiriza

Okusinzira ku mubaka Karim Masaba, omubaka we Mbale Industrial Division, minisitule eye byobulamu yakola embalirira ya mitwalo 80 buli lunaku okusobozesa ambulance zino okukola

Ono agambye nti palamenti yakuyingira munsonga zino banonyereze ensimbi gyeziraga ne ambulance endala gyeziri.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *