Amawulire

Ababaka basiimye omugenzi Ssabasumba Lwanga

Ababaka basiimye omugenzi Ssabasumba Lwanga

Ivan Ssenabulya

April 14th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Ababaka ba palamenti basiimye emirimu gyomugenzi abadde ssabasumba wessaza ekkulu erya Kampala Dr Cyprian Kizito Lwanga.

Ekiteeso ekisiima emirimu gye kileetedwa ssabaminisita Dr Ruhakana Rugunda ne kiwagirwa akulira oludda oluvuganya mu palamenti

Betty Aol Ocan ne minisita Florence Nakiwala Kiyingi ayogedde ku mugenzi ngeyakolera obukatoliki awatali kwe balirira nabeera eddoboozi eryabo abanyigirizibwa.

Dr Lwanga yasangibwa afiiridde mu makage ngennaku zomwezi 3 omwezi guno oluvanyuma lwokulabikako eri abakristu mu kutambuza ekkubo lyomusalaba

Okusinzira ku alipoota ya basawo ono yafa kirwadde kya mutima

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *