Amawulire

Ababaka basabye Kenya egyénvubbo ku Kasooli wa Uganda

Ababaka basabye Kenya egyénvubbo ku Kasooli wa Uganda

Ivan Ssenabulya

March 10th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ababaka ba Uganda abakiika mu palamenti ya East Africa basabye gavumenti ya Kenya ekujja envubo gyeyatadde ku kasooli ava e Uganda ngólutalo lwe byenfuna telunabarukawo

Mu kwogerako ne bannamawulire ku palamenti ababaka okubadde Paul Musamali, Dennis Namara, ne Mary Mugyenyi bategezeza nti Kenya kino ekikola kagenderere okuwera ebyamaguzi ebiva e Uganda munsi yaabwe.

Bano bazooka kuwera mata, maggi ne birala ebiva mu ggwanga lino okudda munsi yabwe nga bekwasa nti tebiri ku mutindo.

Ssabiiti ewedde Kenya yalangiridde nga bweweze kassoli wa Uganda nga bagamba nti alimu ekirungo ekyobulabe eri abantu nga kiva mu kumutereka bubi nawumba.

Kati ababadde bamutwala e Kenya bakonkomadde naye kunsalo tebamanyi kyakuzaako.

Ababaka wano webasabidde wabeewo okuteesa eri abakulu ba mawanga gombi okunogera eddagala ekizibu kino