Amawulire

Ababaka bambalidde abavuganya mu Tanzania

Ababaka bambalidde abavuganya mu Tanzania

Ivan Ssenabulya

March 24th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko kakola kunsonga zómukago gwa East African Community banenyeza bannabyabufuzi abali ku ludda oluvuganya gavt mu ggwanga erya Tanzania olwokudda ku mikutu gya social media ne bogerera omugenzi John Pombe Magufuli amafukuule.

Kino kidiridde bannabyabufuzi bano okwogerera abadde omukulembeze wensi yabwe nga bwabadde nnakyemalirira era nga emyaka etaano gyamaze mu ntebbe tewali kyakoledde ggwanga.

Ababaka okubadde Francis Gonahasa owa Kabweri county, Stephen Kangwagye owa Bukanga county,ne George Abbot owe Bukooli bagambye nti bannabyabufuzi ku ludda oluvuganya basanye okuba ne myoyo gwa gwanga gavt eri mu buyinza wekoze obulungi bagiwaane so si kuvumirira.

Bano bagamba nti Magufuli asanye okutenderezebwa olwomukululo gwalese munsi ye omuli okuleetawo enkulakulana, okulwanyisa enguzi ate abadde musajja atya katonda

John Pombe Magufuli yassa ogwenkomerero oluvanyum lwokutawanyizibwa ekirwadde kyomutima ebbanga eriwerako era wakuziikibwa ku lunaku olwokutaano olwa ssabiitie eno