Amawulire

Ababaka baluyiseeko

Ali Mivule

September 11th, 2013

No comments

latest rebels

Ababaka abagobwa mu kibiina kya NRM bafunye ku buweeerero.

Abalamuzi musanvu abatuula mu kooti y’okuntikko mu ggwanga nga bakulembeddwamu omulamuzi Bart Katureebe basazizamu ekya kkooti etaputa semateeka okugoba ababaka bano.

Kiddiridde kooti eno okulagira sipiika Rebecca Kadaga okugaana ababaka bano okulinnya mu palamenti okutuusa ng’omusango gwaabwe gumaze okuwulirwa

Wetwogererea nga bano baddembe okukiika mu parliament, okutuusa nga 18 omwezi ogujja nga kooti eno emaze okusala  eggoye ku nsonag zaabwe.

Mu kusooka , omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga  Rebecca Kadaga ategeezezza nga bw’atasobola kugoba babaka bano kubanga ebyava mu kooti babimutegeeza butegeeza naye nga tebabimuwa mu buwandiike.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *