Amawulire

Ababaka bakunyizza  kiggundu

Ababaka bakunyizza kiggundu

Ali Mivule

November 17th, 2015

No comments

File Photo: Ababaka mu Palamenti

File Photo: Ababaka mu Palamenti

Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko k’ebyamateeka bakunyizza akakiiko k’ebyokulonda kebalumiriza okukolera mu nkwawa z’omukulembeze w’eggwanga.

Kino kiddiridde akakiiko k’ebyokulonda okuzzawo ennaku z’okusunsula abagenda okwesimbawo ku bwa loodi meeya oluvanyuma lw’okubisazaamu okusooka.

Ababaka okuli  Abdu Katuntu ne  Sam Otada bebamu ku bakunyizza ssentebe w;akakiiko k’ebyokulonda Dr. Badru Kiggundu nebategeeza nga bwebalina okubuusabuusa ku kwetongola kw’akakiiko kano.

Kino kiggye  Dr Badru Kiggundu mu mbeera neyewozaako nga mpaawo Muntu yenna ayinza kubabulira kyakukola.

Kiggundu agambye nti bakubaganyizza ebirowoozo ne ssabaminsita w’eggwanga nebakkaanya nti okusunsula kusobola okugenda mu maaso.

Ekibiina kya  Democratic Party kivumiridde amaanyi agasukkiridde agakozeseddwa poliisi mu kukwata loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago.

Olunaku olweggulo Lukwago y’akwatiddwa bweyabadde agezaako okwolekera akakiiko k’ebyokulonda okusunsulibwa ku bwa loodi meeya.

Omwogezi w’ekibiina  Kenneth Paul Kakande agamba eddembe lya Lukwago lyalinyiriddwa nga teyaweereddwa lukusa kwewozaako.

Mungeri yeemu Kakande ajereze akakiiko k’ebyokulonda olw’okwetema engalike ku nongosereza mu mateeka agafuga Kampala nebaddamu okuteekawo ennaku zokusunsulirako abagenda okwesimbawo nga okusooka baabadde bakuyimirizza.

Kakande agamba kino kyeraga lwatu nti akakiiko k’ebyokulonda teketengeredde era katambulira mu nkwawa za gavumenti.