Amawulire

Ababaka bakunyiza minisita ku bayizi ba wano abasomera e Kenya

Ababaka bakunyiza minisita ku bayizi ba wano abasomera e Kenya

Ivan Ssenabulya

April 28th, 2021

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko ake byenjigiriza bakunyiza minisita owe byenjigiriza ebyawaggulu, John Chrysostom Muyingo anyonyole ku bayizi bannauganda abesoga eggwanga erya Kenya okusomerayo songa eggwanga eryo liri bubi mu mbeera ye kirwadde kya covid-19

Omubaka we kibuga kya Busia Municipality Godfrey Macho, agambye nti baasi za Kenya 11 zinona abayizi ba nasale abasoba mu 500 buli ku makya okugenda okusoma ate ekawungeezi ne zibaza.

Ono agamba nti kino kiteeka Uganda mu matiga kuba abaana bano basobola okufuna ekirwadde ne bakileetera aba famile.

Ssentebe wa kakiiko kano, Jacob Opolot wano wasabidde minisita ababuulire lwaki abakungu abavunanyizibwa ku batambula ku nsalo baleka abaana bano okugenda mu Kenya.

Muyingo mu kubanukula agambye nti wakutuula ne ssabaminisita batunule mu nsonga eno.