Amawulire

Ababaka bajjukiziddwa ku buvunanyizibwa bwabwe

Ababaka bajjukiziddwa ku buvunanyizibwa bwabwe

Ivan Ssenabulya

May 21st, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe ne Ritah Kemigisa

Palamenti empya eyomulundi ogwe 11 basomozeddwa nti bakole emirimu, gyabwe mu butuufu nga ssemateeka bwabalagira.

Okuwabula kuno kukoleddwa akulira ekitongole kyobwankayewa ekya Alliance for finance monitoring, Henry Muguzi mu kiseera kino ngababaka 529 abagenda okukiika mu palamneti eyomulundi ogwe 11 bamaze okukuba ebirayiro byabwe.

Muguzi agambye nti basaanye okwewala ebibajja ku mulamwa, nayogera ku palamenti eyomulundi ogwe 10 nti tebakoze bulungi ebyali bibasubirwamu, okugeza bwebawagira ekyokujja ekkomo ku myak gyomukulembeze we’gwanga.

Muguzi agambye nti obuvunayizbwa bwabwe obwessalira kuliko okubaga amateeka, okukirirra abanatu baabwe, n’okulondoola emirimu gya gavumenti.

Ate omubaka we’ssaza lye Pingire Fred Opolot asomozza babaka banne, nti batandikirewo okukola emirimu.

Bwabadde ayogerako naffe, omubaka Opolot nga yakulira essunsuliro lyamawulire ga gavumenti erya Uganda Media Centre agambye nti engeri okulwayira gyekwawedde, essira basaanye okuliteeka ku mirimu.

Ono agambye nti agenda kuwagira ekibiina kye ekya NRM, nomukulembeze we’gwanga mu nkola eya Parish model, okuyira ku miruka okulaba nga gavumenti etuusa obuwereza eri abantu.