Amawulire

Ababaka bagenda kutuula mu weemwa

Ababaka bagenda kutuula mu weemwa

Ivan Ssenabulya

May 21st, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Palamenti eri mu ntekateeka okugula weema, ezinatuuza ababala mu palamenti empya eyomulundi ogwe 11.

Kino kibikuddwa akulira ebyamwulire ku palamenti Hellen Kawesa oluvanyuma lwababaka okulayira, wabula wakati mu kutya nti ekizimbe kya palamenti tekigenda kusobola kutuuza ababaka abayitirivu 529.

Kino agambye nti kyasaliddwawo, nokwetangira ekirwadde kya ssenyiga omukambwe, ababaka okusobola okutuula nga bewadde bulungi amabanga.

Kati agambye nti bagenda kugula tent ezaabwe, bagenda kukiteeka mu mbalirira.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *