Amawulire

Ababaka bagala kusisinkana Pulezidenti Museveni kubyebbago lyabakozi

Ababaka bagala kusisinkana Pulezidenti Museveni kubyebbago lyabakozi

Ivan Ssenabulya

March 29th, 2021

No comments

ByaNdhaye Moses

National Organization of trade Unions, ekibiina ekigatta abakozi mu gwanga kyakutuula wiiki ejja, okusalwo ekiddako oluvanyuma lwokukitegeera nti minisita webyensimbi Matia Kasaija yawabudde omukulembeze w egwanga obutateeka mukono ku bago erye nnongosereza mu kitavvu kyabakozi.

Palamenti gyebuvuddeko yayisa ebago lino, nga lyjiramu buwayiro pobukiriza omukozi okuweebwa ku ssente ze 20%  ssinga abeeera awezezza emyaka 45, atenga eterese okumala emyaka 10.

Kati amawulire gawandiika wiiki ewedde nti minisita yategeeza pulezidenti Museveni nti tebalina ssente mu mpeke ezokuwa abakozi abali mu mitwalo 32, abawezezza emyaka 45 nga kijja kubetagisa okutunda ku byobugagga byekitavvu byebazze batekamu ssente okumala ebbanga.

Wabula ababaka babakozi bagamnbye nti ebbago lino baliyisa kubanga ddungi eri omukozi, atenga terikosa kabibeere ebyenfuna bye gwanga.

Ssentebbe wa NOTU, Usher Willson Owere agambye nti bagenda kukola nentekateeka okusisisnkana omukulembeze we gwanga, okumunyonyola obulungi bwe bbago lino.