Amawulire

Ababaka ba palament basiimye okulonda kwe Congo.

Ababaka ba palament basiimye okulonda kwe Congo.

Ivan Ssenabulya

January 11th, 2019

No comments

Bya Samuel Ssebuliba.

Abamu ku babaka ba parliament yaakuno basiimye  okulondebwa kwa Felix Tshesekedi ng’omukulembeze wegwanga lya Congo,nga ono yalangiriddwa sabiiti eno.

Ababaka bagamba nti kino kiraga nti kati kisobokera ddala amawanga ga Africa okuyita mu kalulu akataliimu kuyiwa musaayi nebakyusa obukulembeze, kale nga kano kabonero kalungi akalaga ebibala bya democracy  mu Africa.

Omubaka wa Makindye Ssabagabo Sempala Kigozi agambanti kuzuuse nga omulembe gw’amajje okwefulira government guwedeko, kale nga kati abakulembeze balina okwediza obuyinza bwabwe.