Amawulire

Ababaka abakyala bagala Onesmus yetonde

Ivan Ssenabulya

March 13th, 2018

No comments

Bya Sam Sseabuliba

Ababaka abakyala batadde ku nninga mubaka munaabwe owa Bungagizi East Onesmus Twinamatsiko okuvaayo amenyewo ebigambo bye, bweyawagidde okukuba abakyala mungeri yokubagunjula.

Twinamatsiko yategezeza nti mpisa ya baddugavu okugunjula abakyala.

Kati mu lutuula lwa leero luno, olukyagenda mu maaso ababaka bano nga bakulembeddwamu owa district ye Lira, Joy Atim Ongom basabye omubaka ono okwetonda.

Wabula omumyuka womukubiriza wa palamenti Jacob Oulanya asabye ababaka okusigala nga bakakamu Onesmus kwenyonyolako olunnaku lwenkya.