Amawulire

Ababadde befuula kyebatali babakutte ne mmundu

Ababadde befuula kyebatali babakutte ne mmundu

Ivan Ssenabulya

September 14th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Waliwo abasajja 4 abakwatiddwa e Mukono nga kigambibwa nti ababadenga befuula abava mu ofiisi yomukulembeze we gwanga, nga basangiddwa ne mmundu 2.

Abakwatiddwa kuliko, Kiweewa Burton Mugagga, Lwasa Nickson, Lugo John Bosco ne Benon Mwanje nga kigambibwa nti ababdenga beyita kyebatali okwagala okutwala ettaka eritali lyabwe wali e Mpatta ku nyanja Nalubaale.

Basangiddwa nemmundu kika kya basitoola ne kya AK 47.

Okukwatibwa, beetutte mu wofiisi yomubaka wa gavumenti, e Mukono okumweyanjulira wabula bwebogedde ebitakwatagana natemya ku poliisi.

Emmundu zijiddwa mu mmotoka kika kya premio mwebabadde batambulira.

RDC Nassar Munuulo aagmbye nti era baazudde nga babadenga batisatiisa okugoba abatuuze ku ttaka.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *