Amawulire

Ababadde bagendola P7 bafiridde mu nyumba

Ababadde bagendola P7 bafiridde mu nyumba

Ivan Ssenabulya

October 14th, 2019

No comments

Bya Joel Kaguta

Abaana ababadde balaindiridde okukola ebigezo bya P7 2, bafiridde mu namutikwa wenkuba akedde okutonnya, nayigukulula ne ttaka ku kyalo Kyambarwa mu gmobolola ye Mahango mu district ye Kasese.

Ssentbbe we gombolola eno Eric Maathu Muhasa ategezezza bannaffe aba Daily Monitor nti abagenzi kubaddeko Winnie Biira owemyaka 18 ne Patience Kabugho owemyaka 15.

Agambye nti waliwo ekiyinja ekikubye ennyumba bano bwebabadde bebase, bwebubadde busasaana.

Yye taata wabaana bano Eriano Baluku baawonedde watono, nabo okufira mu njega eno.

Bano babadde bayizi nga bagenda kukola bigezo byabwe ebyakamlirzo ebykyomusanvu ku ssomero lya Nyamisule P/S.

Kati okunoonya emirambo gyabaana bano kukyagenda mu maaso, nga gikyawagamidde mu bifunfugu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *