Amawulire
Abaana bazalibwa bajeemu
Bya Ivan Ssenabulya
Ekibiina kya Mother’s Union balaze okutya olwa’baana abajeemu abazalibwa ensangi zino.
Dr. Ruth Ssenyonyi akulira ekibiina kyabakyala be kanisa kino, abadde bagalawo olukungana lwabwe olwa buli mwaka wali ku ssomero, olubadde lubumbijira ku ssomero lya Seeta High e Mbalala-Mukono.
Agambye nti abazadde basaanye okudda ku buvunanyizbwa bwabwe, okulwnayisa embeera eno.
Wano era alaze nokutya kungeri amaka gyegagenda gasasaika, kyagambye nti kibi nnyo kubanga obufumbo namaka gwemusisnji gwe gwanga.