Amawulire

Abaana basse taata waabwe

Abaana basse taata waabwe

Ivan Ssenabulya

September 25th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi e Isingiro etandise okunonyereza ku butemu obwakoleddwa ku musajja Caroli Tuwangye, agambibwa nti yatemuddwa batabani be.

Omugezni abadde aweza emyaka 64 ngabadde mutuuze ku kyalo Butenga I, mu gombolola ye Birere e Isingiro, nga baamusanze mu nyumba yoomu ku batabani be nga mufu.

Yasangiddwako ebiwundu ebyamaanyi ku mutwe neku bulago.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Kigezi Eli Matte akakasizza, obutemu buno, nagamba nti batandise okuyigga abaana okuli Nuwebaruga Philipo ne Makofu Purinari abagambibwa nti bebasse kitaabwe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *