Amawulire

Abaana basirikkidde mu muliro

Ali Mivule

July 1st, 2013

No comments

fire guts house

Abaana babiri baasirikkidde mu muliro ogukutte enyumba e Mukono.

Bino bibadde ku kyaalo Ssugu mu ggombolola ye Mpata mu district ye Mukono.

Abagenzi bategerekese nga Christine Nakanwagi ow’emyaka 6 ne Irene Namatovu ow’emyaka 4

Maama w’abaana bano, Julian Nakakande agamba nti abantu abatannategerekeka bakumye omuliro ku ssabo omuliro negulanda okutuuka mu nju abaana gyebabadde beebase

Omukyala ono agamba nti ab’enganda kirabika beebakoze ekikolw akino kuba bulijjo bamulangira nti y’aleese obwavu mu kika

Akulira poliisi enonyereza ku buzzi bw’emisnago emukono Henry Mugumya agambye nti poliisi etandise okunonyereza ng’abasawo bwebekebejja emirambo gy’amabujje gano.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *