Amawulire

Abaana abataakola bibuuzo bya P.7 sibakuyambibwa.

Abaana abataakola bibuuzo bya P.7 sibakuyambibwa.

Ivan Ssenabulya

November 8th, 2018

No comments

Bya Samuel Ssebuliba.

Minister akola ku nsonga z’ebyenjigiriza Janet kataha Museveni akaladde n’ategeeza nga ekitongole kya UNEB ekikola ku by’ebibuuzo bwekitasobola kulowooza ku kyakuddamu kuwa baana bibuuzo by’anjawulo , naddala bano abataakola bibuuzo olw’ensonga ez’enjawulo.

Ono okwanukula kyadiridde omubaka James Waluswaka owe Bunyole West okutaama nga agamba nti abaana abawerako okuva mu district ez’enjawulo tebaakola bibuuzo olw’ensonga ez’enjawulo okwali obutawandiisibwa,okugobwa olwebisale  n’ebirara.

Kati minister mukwanukula agambye nti abaana bakola ebibuuzo ebifanagana kubanga baagala n’obubonero bwebafuna bufanagane, songa n’okuddamu omulimo guno kyetagisa ensimbi nyingi, ate zebatalina.

Kati ono agambye tewali ntekateeka zakuddamu kuwa bano bibuuzo nga ababaka bwebasaba.