Amawulire

Abaana 5 mu nnyumba emu batemuddwa

Abaana 5 mu nnyumba emu batemuddwa

Ivan Ssenabulya

March 14th, 2019

No comments

Bya Sam Ssebuliba

Abaana 5 nga bonna baamu nyumba emu mu district ye Kyenjojo batemuddwa.

Bino bibadde ku kyalo Kahompo mu gombolol Bufunjo, abatamanya ngamba bwebabayingiridde mu nyumba.

Abaana bano kuliko ATUHAIRWE BARBRA owemyaka 7, ALINGANIZA OSCA owemyaka 4, AYINEBYONA LINET wa myaka 3, TULINOMUGISHA DEVIS myaka 2 nomulala ategerekeseeko erya  ABWOOLI ngabadde muwere wa mwezi 1.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu ttundutyundu lya Rwenzori West, Lydia Tumushabe abaana bano bonna babadde ba TUMWEBAZE JOSEPH omusubuzi omututumufu mu kitundu ekyo.

Bino bibaddewo mu kiro ekiesezza olwaleero, nga kigamabibwa nti abatemu bakubye amadinisa agendabirwamu nebayaingira n’ebatematema omu ku omu.

Poliisi esabye abatuuze eokusigala nga bakakamu, nebasubiza nti okunonyereza okwanamaddala akugenda akukolebwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *