Amawulire

Abaana 4 abe’nnyumba emu bafudde

Abaana 4 abe’nnyumba emu bafudde

Ivan Ssenabulya

April 12th, 2021

No comments

Bya Gertrude Mutyaba

Abaana 4 okuva mu nnyumba emu, bafudde oluvanyuma lwokunywa eddagala lyoku ttale eryabawereddwa jajja waabwe.

Abaana bano babadde babeera ne jajja, ku kyalo Kirangira mu gombolola ye Kasankala mu disitulikiti ye Rakai.

Abagenzi kuliko Jovan Kivumbi owemyaka 4, Shivan Mirembe owemyaka 3, Elijah Lubyayi wamyaka 3 ne Sarah Nabukenya owemyaka 2.

Omwana yekka eyasimattuse ye Alfa Kamya owemyaka 6, nga wetwogerera alai mu ddwaliro e Lubaga wano mu Kampala.

Okusinziira ku Fred Bongole owoluganda, abaana bano jajja aliko eddagala lyeyabawadde ngalowooza nti omululuuza, oluvanyuma lwokulwala ekifuna ne ssenyiga.

Abaana babairi okuli Elijah Lubyayine Sarah Nabukenya babadde ba Peace Nambatya atenga ablala Jovan Kivumbi ne Shivan Mirembe babadde ba Daniel Wasswa nga bano baana, eri omukadde.

Shifa Kiribwa omuddumizi wa poliisi e Rakai akaksizza bino, nategeeza ngokunonyereza bwekutandise, waddenga tebalina muntiu yenna gwebakutte.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *