Amawulire

Abaami bamasaza balabuddwa ku baana

Abaami bamasaza balabuddwa ku baana

Ivan Ssenabulya

June 14th, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Abaami bamasaza basabidwa okwenyigira mu kaweefube wokulwanyisa okukusa abaana mu masaza gaabwe.

Ekitongole kya Dwelling Places nga kiri wamu n’obwakabaka bwa Buganda kinnyikizza kaweefube w’okulwanyisa okukukusa abaana wamu n’okulaba nga bakuumibwa bulungi.

Ku mulundi guno kaweefube ono bamuyisizza mu baami b’amasaza olwokuba nga balina obusobozi okutuuka ku bantu okubategeeza akabi akali mu kutwala omwana ebweru akube ekyeyo nga ayita mu makubo agatali malambulukufu.

Minisita w’eby’enkulaakulana y’abantu, ebyenjigiriza, eby’obulamu, n’ensonga za woofiisi ya Nnabagereka, Dr. Prosperous Nankindu, bwabadde aggulawo omusomo ku ku kuuma abaana n’okukomya okukukusa abaana mu Masaza ga Buganda, asabye abaami b’amasaza bagende banoonyereze bazuule amakubo mu Masaza gaabwe agayitibwamu okukukusa abaana.

Okusinziira ku Owekitiibwa Nankindu, okunoonyereza kulaga nti abaganda ffe tusinza abaana ku nguudo mu kampala, ffe tusinza abaana abali ku byeyo ebitali birambike.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *