Amawulire

Abaali baagobwa mu Lwera batandise okuddayo.

Abaali baagobwa mu Lwera batandise okuddayo.

Ivan Ssenabulya

October 11th, 2018

No comments

Bya Mbogo Sadat.

Abatuuze abasoba mu 600 abaali baagobwa Samuel Kakande ku ttaka elya yiika 160 e Kamaliba mu Lwera mu district ey’e Mpigi batandise okudayo oluvanyuma lwa president Museveni okukyalayo n’alagira baddeko.

Muntekateeka eno Waatondebwawo akakiiko ka bantu 20 nga kakulemberwa Lt. Col. Edith Nakalema okuva mu maka g’obwa president okuteekateeka enkomawo ennungi ey’abantu bano ku ttaka lino obutasukka mwezi guno kyokka abatuuze bbo balabika tebalinze mulimu gwakakiiko era baatandise dda okwezzayo ku ttaka.

Ssentebe w’ekyalo kino Sulaiman Kaweesi atutegeezezza nga President bweyalagira nti gavumenti eyambeko abantu bano okubazimbira amayumba ng’ebawa amabaati n’ebyeyambisibwa ebirala.

 

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *