Amawulire

Abaagudde ku kabenje bakyaali bubi

Ali Mivule

July 23rd, 2013

No comments

coaster accidet

Abantu bataano kw’abo abaagudde ku kabenje e Masanafu basiibuddwa

28 bakyaali mu mbeera mbi.

Omwogezi w’eddwaliro lye Mulago, Enock Kusaasira agamba nti abali obubi bamenyese nnyo

Omu ku bano ye conductor wa coaster eyamenyese amagulu gombi

Gwetwogeddeko naye  Moses Muganga agamba nti coaster eno yabadde tesiba era bw’etyo yevulungudde nga batuuka e masanafu abantu abasoba mu 30 nebalumizibwa.

Mu ngeri yeemu, bibiri  ku bantu abaddusibwa e Mulago oluvanyuma lw’okugwirwa ekizimbe olunaku lwajjo bakubye ku matu

Aisha Kamara ne Wasswa Mayiga beebazze bakuba ku matu nga bano babaadde basuubuzi ku kizimbe kino.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *