Amawulire

Aba UNEB ne offiisi ya DPP ziggaddwa lwa kirwadde

Aba UNEB ne offiisi ya DPP ziggaddwa lwa kirwadde

Ivan Ssenabulya

June 8th, 2021

No comments

Bya Damali Mukhaye ne Ruth Anderah,

Ekitongole ekivunanyizibwa ku kutegeka ebigezo mu ggwanga ekya UNEB kiyimiriza emirimu gyakyo egyetaagisa okusisinkana abantu kisobole okuteeka munkola ebiragiro byómukulembeze weggwanga.

Omukulembeze weggwanga Museveni bweyabadde ayogerako eri eggwanga ku sande yaweze okungana zábantu abangi naggala ne bitongole ebimu okumala ennaku 42 abakugu basobole okwetegereza entambula ya kawuka ka corona.

Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa ssabawandiisi we kitongole kino Daniel Odongo bakusigala nga bakola emirimu egisobola okukoleka okuyita ku mikutu egyomutimbagano okutuusa nga 18 July ennaku 42 ezomuggalo wezinagwerako.

Ebyo nga biri bityo ssabawolereza wa gavt Jane Frances Abodo aggadde ekitebe ekikulu ekya wofiisiye mu Kampala okuva eri abantu ba bulijjo okumala ennaku 42 mu kawefube wokulwanyisa ekirwadde kya Covid-19.

Abodo agambye nti wofiisi yómuwandiisiwe yo yakusigala nga nziggule eri abo abaleeta okwemulugunya noluvanyuma okwemulugunya kulonderebwe okuyita ku masimu ne email.

Ono awadde ne poliisi amagezi okuyimbula abasibe bonna abali mu budukulu ku misango emitonotono okwewla omujjuzo.

Bino okubaawo nga ne kitongole ekiramuzi kyakayimiriza emmirimu gyakyo omuli nokuwulira emisango egyekuusa ku byokulonda lwa muwendo gwa bakwatibwa ekirwadde okweyongera mu ggwanga.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *