Amawulire

Aba UNBS bayoye eddagala effu lya bukadde 270

Aba UNBS bayoye eddagala effu lya bukadde 270

Ivan Ssenabulya

September 14th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Ekitongole ekirondoola omutindo mu ggwanga ki uganda national bureau of standards kiboye bokisi z’eddagala ezibalirirwamu obukadde 270 mu kikwekweto ekikolebwa mu bbanga lya nnaku 10 zokka.

Ebikwekweto bino biyindidde mu district okuli Kampala ne wakiso

Okusinzira kwakulira ebikwekweto mu bitundu bya masekati William tamale agamba nti bakute bokisi 541 okuva mu bifo ebitalina bisanyizo, abamu babadde batuunda ddagala lya govt, abalala nga batunda lyayitako, abalala babadde tebalina bukugu bubakkiriza kukola mulimu guno.

Tamale agamba nti ebikwekweto nga bino byakugenda mu maaso kuba singa balekebwa kiteeka obulamu bwabantu mu matiga.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *