Amawulire

Aba UDN basabye ebbanja lya uganda lisonyibwe

Aba UDN basabye ebbanja lya uganda lisonyibwe

Ivan Ssenabulya

September 6th, 2020

No comments

Bya Prossy Kisakye , Ekibiina ky’obwa nnakyewa ki Uganda Debt Network kyagala amawanga agakula edda ne banka y’ensi yonna kko na bagabi b’obuyambi abalala okusonyiwa Uganda ebbanja lyalyo kko n’amawanga amalala agakyakula.

Bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku yafeesi zabwe e Ntinda mu kampala, programs director mu kibiina kino, Julius Kapwepwe, agambye nti amawanga agakyakula gayisibwa bubi nyo n’omuyaga gwe kirwadde kya covid-18 nga kati tegali bulungi mu byenfuna.

Ono anyonyodde nti nga ne covid tanajja amawanga agamu gabadde mu lutalo lwa nzige n’amataba ate nga nabyo bitutte ensimbi nyi mu ku bilwanyisa

Kapwepwe mungeri yemu ayagala amawanga amagabi g’obuyambi okukgyawo ensimbi eza magoba ku nsimbi ennewole okumala ebbanga lya myaka 10 okuva kati gasobole okwedabulula mu byenfuna.