Amawulire

Aba UBC bajulidde ku kuliyirirra Besigye obukadde 80

Ivan Ssenabulya

March 13th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah Anderah

Omukuttu gwamawulire ogwa gavumenti, Uganda Broadcasting Corporation gutaddeyo okujulira mu kooti, nga bawakanya ekyokuliwa obukadde 80 nga kooti enkulu bweyalamudde eri munna FDC Dr. Kiiza Besigye olwobutazannya bulango bwe mu campaign za 2011, songa yali abasasudde.

nga 26th February wa 2018, omulamuzi wa kooti enkulu Margaret Oguli-Oumo yasingisizza UBC omusango olwa kyekubiira, bwebatazannya birango bye waddenga yabasasula obukedde 21.

Munnamateeka wa UBC Kiryowa Kiwanuka yakulembeddemu okuddukira mu kooti ejjuliramu, ngawakanya ekyalagiddwa okusasula ensimbi zino nga mulimu namagoba agebitundu 30%.

Besigye yawawabira eyali managing director Edward Musinguzi mu 2012 nekitongole, omusango gweyawangudde.

kati kooti tenalaga ddi omusango guno ogwokujira ddi lwegunatandika okuwulirwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *