Amawulire

Aba Sheema bawakanya ebivudde mu kamyufu

Ali Mivule

October 31st, 2015

No comments

Abamu ku bawanguddwa mu kamyufu ka NRM mu bitundu bya Ankole bagaanye ebyavudde mu kamyufu.

Okuva mu district ye Sheema,ababadde besimbyewo okukikirira Sheema south mu parliament okuli Eng. Raymond Kamugisha, Jonas Tumwiine ne Dr. Polly Katete bataddeyo okwemulugunya kwabwe mu butongole eri akakiiko k’ebyokulonda mu NRM.

Bano bagala okulonda mu kitundu kino kudibwemu ngabagamba nti kwabaddemu okubbira wamu n’okutisatisa abalonzi.

Bano bawanguddwa minister w’ebyobulamu Dr.Elioda Tumwesigye,gwebalumiriza okwenyigira mu mivuyo gyino.

Ye omubaka  omukyala owe Sheema Olive Koyekyenga eyawanguddwa Alison Ayetora-nire, agambye nti okulonda kuno kwekukyasinze okutegekebwa obubbi, kubanga poliisi yeyakubadde mu mitambo.

Ye Deus Atuhaire eyabadde y’esimbyewo ku bya ssentebe bwa district ye Sheema naye yatutte dda okwemulugunya kwe mu kakiiko k’ebyokulonda.