Amawulire

Aba Pipo ppawa banjudde abakulembeze baabwe

Aba Pipo ppawa banjudde abakulembeze baabwe

Ivan Ssenabulya

July 24th, 2019

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Ekisinde kya Power Power ekikulemberwa omubaka wa kyandodo East mu palameni, Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine, kyanjudde obukiiko bwakyo obugenda okutuuka ku wansi mu bantu, nga betegekera okulonda kwa bonna okwa 2021.

Bwabadde ayogera ne banamwulire mu maka gomubaka Kyagulanyi e Magere, omwogezi wekisinde kino Joel Ssenyonyi alangiridde, abantu abagenda okukulembera ebitundu ebobwgagavu, abanakolanga ba kalabalaba okutuukira ddala mu bantu.

Abamu ku balaolndeddwa bava mu bibiina byobufuzi ebyenjawulo.

 1. Omubaka Kasiano Wadri alondeddwa okukulembera West-Nile.
 2. Lucy Akello waakukulembera etundutundu lya Acholi, ne Gilbert Olanya, Anthony Akol, nabalala.
 3. Lango- Jonathan Odur
 4. Teso-Susan Amero
 5. Ankole- omubaka Mbwatekamwa Gaffa
 6. Bunyoro-omubaka Barnabas Tinkasimire
 7. Bugisu- omubaka John Baptist Nambeshe, Anthony Wameli nabalala.
 8. Busoga-Asuman Basalirwa, Paul Mwiru, Moses Bigirwa Moses nabalala.
 9. Bukedi-Nabulindo Agnes
 10. Rwenzori- omubaka Winnie Kiiza, Robert Centenary nabalala.
 11. Kampala Metropolitan-Medard Ssegona, Wakayima Musoke nabalala
 12. Greater Luweero- Lutamaguzi Ssemakula.
 13. Greater Mubende-Patrick Nsamba
 14. Greater Mpigi-Muwanga Kivumbi
 15. Greater Mukono-Lulume Bayiga
 16. Greater Masaka-Mathias Mpuuga.
 17. Francis Zaake wakukulembera ekiwayi kyabavubuka

Kuno era kuliko nabalala abagenda okusinziira mu mawanga ge bweru.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *