Amawulire

Aba NUP basabidde emyoyo gyábafiiridde mu kwekalakaasa

Aba NUP basabidde emyoyo gyábafiiridde mu kwekalakaasa

Ivan Ssenabulya

November 21st, 2020

No comments

Bya Prossy Kisakye

Ekibiina kye byobufuzi ekya National Unity platform kikungubagidde wamu nokusabira emyoyo gy’abagenzi abafiiridde mu kwekalakaasa okwe nnaku 2 okwasanikidde eggwanga

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga, yategeezeza nga abantu 28 beebafiiridde mu kwekalakaasa kuno nga abawagizi bómukulembeze wa NUP Robert Kyagulanyi aka Bobi Wine bagala ayimbulwe okuva mu kkomera

Mu kwogerako eri abakungubazi ku mukolo ogubadde ku kitebe kye kibiina e Kamwokya a, Kayulanyi alayidde nti tewali kigenda ku mujja ku mulamwa gwa kulwanirira nkyukakyuka kabube bukambwe bwa poliisi.

Mungeri yemu Kyagulanyi alabudde abakuuma ddembe okwefumintiriza ku bikolwa byabwe kuba waliwo akadde buli omu wanasasulira buli kyakoze