Amawulire

Aba NUP bakulonda anavuganya kubwa sipiika

Aba NUP bakulonda anavuganya kubwa sipiika

Ivan Ssenabulya

March 29th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye, ne Damali Mukhaye,

Abakulembeze bé kibiina kye byobufuzi ekya National Unity Platform bakwevumba akafubo mu ssabiiti ejja balabe ani ayinza okukwata bendera ye kibiina mu lwokaano lwa sipiika wa palamenti mu palamenti ejja

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kye kibiina mu kampla, amyuka sentebe wekibiina mu bitundu ebyobuvanjuba bwe ggwanga omubaka,John Nambeshe agambye nti oluvanyuma lwensisinkano eno bakwanjula omuntu waabwe oba okulaba gwe bayinza okuwagira.

Naye nga agamba nti ekibiina kirina obusobozi okuvaayo nomuntu ayinza okulya Entebbe yobwa sipiika

Mungeri yemu Nambeshe agamba nti munsisikano yemu bakulaba kye bazaako okulaba nti abantu babwe bonna abaggalirwa bayimbulwa awatali bukwakulizo

Mungeri yemu ekibiina kya FDC kikowodde bannakibiina abagenda okukiika mu palamenti ejja okuwagira ba kandidenti baabwe bebawanzeko endusu ku kifo kyobwasipiika ne kyomumyukawe.

Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina e Najjanankumbi, mu kampala, amyuka ssabawandiisi we kibiina Harold Kaija agambye nti omubaka Ibrahim Ssemujju Nganda, owa Kira Municipali wakuvuganya kubwa sipiika ate Yusuf Nsibambi, owa Mawokota South abinkane kuky’omumyuka.

Ono agambye nti ababiri bano bakulangirirwa mu butongole senkagale wekibiina oluvanyuma lwa mazuukira ga mukma waffe.

Abantu 4 bebakalaga obwagazi mu ntebbe yobwa sipiika ku bano kuliko, sipiika aliko kati Rebecca Kadaga nomumyukawe Jacob Oulanya aba NRM, owa DP Richard Sebamala nowa FDC semujju nganda ate abagala ekyomumyuka baweze 6

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *