Amawulire

Aba NRM bawangudde okulonda kw’eBunyoro

Aba NRM bawangudde okulonda kw’eBunyoro

Ivan Ssenabulya

September 27th, 2019

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Munnakibiina kya NRM eyakikwatidde bendera mu kulonda kwomubaka omukyala owa district ye Hoima alangiriddwa ku buwunguzi.

Bwabadde alangirira ebyavudde mu kulonda kuno, akulira ebyeokulonda mu district ye Hoima Douglas Matsiko alangiridde Harriet Mugenyi Businge nga yafunye obululu emitwalo 3 mu 3,301 ate Asinansi Nyakato owa FDC era eyabadde akutte bendera eyaboludda oluvuganya gavumenti awamu obululu emitwalo 2 mu 8,789.

Wabula mu kulonda kuno abasing ku bludda oluvuganya gavumenti babadde bekokola, okubba obululu okwakwetobeseemu.

Kati abalondoozi bebyokulonda wansi womukago gwa Citizens Coalition for Electoral Democrasy in Uganda, bagamba nti abakyala bajumbidde nnyo okulonda kuno, wabulanga mwabaddemu nebikolwa ebimenya amateeka bino na biri.

Crispin Kaheri ye mukwanaganya wemirmu gya CCEDU.

Ate mu district ye Kaabong, akulira ebyokulonda Julius Ongom naye alangiridde owa NRM Christine Tubo ku bunwaguzi, ngomubaka omukyala agenda okukiika mu palamenti.

Ono yanagudde ku bululu emitwalo 2 mu 2,532 ate owa FDC Judith Adyaka nafuna obululu 1,692.

Ebino bino byonna byasigala nga bikalu oluvanyuma lwabaali ababaka, okusalaowo okugenda ne district empya zebakutulako okuli Kikuube ne Karenga.