Amawulire

Aba NRM bagala kusisinkana Museveni

Aba NRM bagala kusisinkana Museveni

Ivan Ssenabulya

October 1st, 2019

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Waliwo ekibinja kyabavubuka bekibiina kya NRM abagumbye ku maka gobwa presidenti e Nkaasero, nga babanjaokusisinkana omukulembeze w egwanga.

Bano okuva mu bitundu bya Acholi bawera amakumi 50, nga bagamba nti presidenti Museveni yabasubiza wabula ensisinkano yaabwe negwa butaka mu mwezi gwomukaaga omwaka guno.

Babadde bakulembeddwamu omukwanaganya waabwe mu bitundu bya Acholi Stephen Odokrach, era bagamba nti kyebagala kwekulaba engeri yokukolagana obulungi ne gavumenti emirmu gyayo gitambule.

Odokrach ategezezza nga bbo essira bweritadde kungeri, gavumenti gyeyinza okuteeka mu nkola ekirooto kye gwanga kyebatuuma vision 2040.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *