Amawulire

Aba NRM bagala kugenda mu kooti

Ivan Ssenabulya

March 16th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abakulu okuva mu kibiina kya NRM abawanguddwa mu kulonda okwabadde okwokuddibwamu, okwa Jinja East bagamba nti tebamatidde nebyavudde mu kulonda kuno, nga bagamba bakyetegereza oba banagenda mu kooti.

Kino kidiridde akawungezi akayise akakiiko kebyokulonda okulangirira Paul Mwiru ngomubaka eyalondeddwa bweyawabgudde owa NRM Igeme Nabetan nabalala 6 bwebavuganyizza.

Kati bwabade ayogerako ne banamawulire, ssabawandisi wa NRM Justine Kasule Lumumba agambye nti bamaze okulagira banamateeka baabwe okwekennenya obujulizi bwebabawadde nokutunula mu byobba ebyabadde mu kulonda kuno balabe oba bagenda mu kooti.

Ono agambye nti okulonda kuno kwabaddemu vvulugu, okuli okukuba abawagizi ba NRM, okukuba campaign okusuka mu budde nokutusatiisa abalonzi, nga byakoleddwa aba FDC.