Amawulire

Aba NRM bafulumiza entekateeka mu kulonda sipiika

Aba NRM bafulumiza entekateeka mu kulonda sipiika

Ivan Ssenabulya

May 18th, 2021

No comments

Bya Moses Ndaye,

Ekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM kifulumiza ebinagobererwa mu kusunsula abo abegwanyiza Entebbe eyobwa sipiika bwa palamenti nomumyukawe.

Ssentebe wa kakiiko ke byokulonda mu NRM Dr.Tanga Odoi agambye nti akakiiko ka CEC kakutuula mu ssabiiti eno okusunsula abegwanyiza ebifo ebyo.

Abanaba bayiseemu amaanya gaabwe gakubwako akalulu akekyama ababaka ba NRM ngénnaku zómwezi 23rd May.

Odoi ayongeddeko nti abanaba bayiseemu amaanya gabwe gakusindikibwa mu palamenti bebaba bakwatira ekibiina bendera mu kuvuganya ku bifo byombi.

Okulonda sipiika wa palamenti nómumyukawe kwakuberawo nga May 24th.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *